Ebbaluwa eri omukulembeze w’Eggwanga Uganda Yoweri Kaguta Museveni
Okuva eri omuvubuka atali mumativu n’embeera.
Oweekitiibwa Pulezidenti, Nkuwandiikidde nga ndi mu kwemulugunya, mu nnaku wamu n’okwennyamira. Siri munnabyabufuzi wabula nga ngoberera bulungi ebigenda mu maaso mu ggwanga lyaffe. Kinkaluubiriza okuwandiika ebbaluwa eno nessitonyeza maziga wamu nokulumwa mu mutima gwange. Ebigenda mu maaso mu ggwanga binkaabya era binnenyamiza. Nsiima nnyo kaweefube gw’okola nga okutukubiriza ffe abavubuka okukola era n’okwenyigira mu kukulaanya ebyenfuna by’eggwanga lino, anti kimanyikiddwa nti ffe abasinga obungi mu ggwanga lyattu. Owekitiibwa, sijja kukuwa bibalo evikwata ku bavubuka mu ggwanga kuba mmanyi nti ebyo bikuweebwa emirundi mingi, wabula nzikiriza nkubuulire kwekyo kyetuyitamu ffe abavubuka abagezaako okukola n’okutandikawo emirimu mu Uganda. Omuntu wa bulijjo oba omuntu wa wansi nga bwe tutera okuyitibwa alabidde ennaku nyingi mu ggwanga lyaffe lino. Ennaku n’okubonaboona bino byeyongera buli olukya. Buli lwetugeenda mu malwaliro nga temuli ddagala, ebitanda bya kulwanira tweyongera kwennyamira na kukaaba wamu n’okwebuuza ebibuuzo ebitalina addamu. Twongera okunakuwala nokukaaba nga tubinikibwa emisolo kyoka ate bwe tugiwa olwo abantu ab’olubbatu nebazikozesa ebyabwe ebitazimba ggwanga! Bwe kituuse ku ba maama baffe wamu n’abaana abobuwala mu ggwanga ne gujabagira, anti buli lunaku tuziika bang inga battiddwa mu bukambwe obw’ekitalo! Abantu bakubwa amasasi mu lujjudde, emisana ttuku kyoka abakola bino tebakwatibwangako. Ebbula ly’emirimu erissuse lyongedde munnyo mu bbwa. Anti abavubuka abasinga obungi mu ggwanga tebalina mirimu. Abo abatwalibwa mu mawanga nga Somalia ne Iraq okulwana bwe bakomawo kuno mwaanattu nabo tebalina kyakukola. Awo nno olw’okwekyawa ne batta abantu nga bwetutera okubisoma n’okubiraba mu mawulire. Simanyi oba nga Gavumenti erina kyekola okuyamba abantu nga abo nokumanya embeera gyebalimu. Gattakoo n’okumanya oba nga balina emirimu bwe bajja eky’okulya n’okusobola okweyirizaawo wamu n’abantu baabwe. Ebyenfuna by’eggwanga nabyo kati bituleetera okubunaboona, anti byeyongera kwennyika buli olukya. Kino kileetera omuntu wa wansi okwongera okubonaboona n’okukaaba akayirigombe. Buli kibi kigenda mu maaso mu ggwanga kiva ku byanfuna, anti nga buli omu anoonya wabeerera obulungi. Obuli bwenguzi bukutte akati butuleetera okwebuuza wwa ddala eggwanga lino gye liraga. Ebiseera by’omumaaso mu ggwanga lino bitweraliirikiriza. Abali be’nguzi abasusse ate nga tebaleetebwangako mu mbuga za mateeka kitweelaliikiriza, kitumalamu amaanyi era kitwennyikiza emitima. Abasomesa, abasawo wamu nabakozi ba Gavumenti abalala ababeera u kwekalakasa olutatadde olw’emisaala emitono ate nga girwayo batuleka tunyeenya mitwe nga twewuunya lwaki tusoma. Edda okusoma kwatwalibwanga nga oluggi lwobuwanguzi bokubaa obulungi. Wabula kati abasomi bagenda bagwamu essuubi nga balaba okusoma kuboonoonera budde, anti si buli asomye nti ali bulungi. Abaana abawala abava mu masomero olw’obutasoobola kwetusaako bikozesebwa mu nsonga z’abakyala nabo beeyongedde obungi. Mu kyasa kino ekya 21, Ssebo Pulezidenti, tekikwewuunyisa ekyo? Bw’osoma ebiwandiikibwa mu mawulire ku baana abawala abo abava mu masomero nga ate betaaga okusoma owulira otya gwe nga taata w’eggwanga? Olina obusobozi n’obuvunanyizibwa okulaba nnnga buli mwana mu Uganda asoma era nga abeera mu mbeera ennungi. Olowooza obuvunanyizibwa obwo obwa kukwasibwa bannaUganda obukozesezza bulungi Ssebo Pulezidenti? Obufumbo mu ggwanga bumenyeka olw’okuba nga abasajja batya embeera y’okwebezaawo eri waggulu. Kino omanyi kye kitegeeza Ssebo Pulezidenti? Kitegeeza nti mangu ddala obufumbo bugenda kuba bugwawo mu ggwanga, ate nga obufumbo kye kimu kwebyo ebizimba eggwanga, anti empisa zonna zisooka kuyigirizibwa kuva waka. Singa bufa, eggwanga ligenda kuba n’abantu abatalina mpisa zitegeerekeka era n’obuzzi bw’emisango bweyongere. Obubbi bw’emundu, obutujju, enguzi,obutemu n’emize emirala gigenda kweyongera mu ggwanga. Sikiwa nga ojja kubeera musanyufu okubeera n’abasibe nga bsinga abantu abali ebweru mu ggwanga lyo era mu kiseera kyobufuzi bwo. Kiki kyoyagala eggwanga likujjukirireko? Bwe kituuka ku musolo omupya ogwa teekeddwa ku mikutu nga facebook,twitter ne Watsup ate ne gujabagira. Pulezidenti yennyini atukubiriza okukola era okuyiiya ate yatubinika omusolo ogutulemesa okutuukiriza ebigendererwa byaffe ebirungi. Ba minisita bo Ssebo baalowooza ku muwendo gw’abantu abakozesa emikutu gino okwebeezaawo? Nze nkozesa ‘computer’ okokola emirimu gyange era neetaaga yintanenti. Bwemba sigirina emirimu gyange gizingama, okukkana nga sikoze. Mikwano gyange bangi bemmanyi nga bakola ebyennimi ate nga bakozesa yintanent n’okufuna emirimu okva mu nsi endala. Kati olwomusolo guno, tebakyasobola kufuna mirimu gino. Abalala abakola ku ‘mobile money’ abo bbo ‘mw’abajje mu kintu’ nga enjogera yaffe abavubuka bweri. Emisolo gino gikalubizza nyo embeera Ssebo Pulezidenti. Okugaziya ensawo y’emisolo mu ggwanga kirungi nyo era nkiwagira kuba mu misolo gino tufunamu ebyo byonna bye twetaaga nga amalwaliro, enguudo ennungi, n’ebirala bingi. Naye bino byonna tetusobola kubifuna kati wadde nga omusolo gutukubinikibwa kuba enguzi mu bakozi ba Gavumenti nyingi ddala, kitegeeza nti sente ezikunganyizibwa mu misolo tegujja kukola bye twetaaga wabula zigabanibwa abantu ab’olubatu. Ndowooza nti kikulu era kijja kuba kirungi singa emisolo gino gyongera okwetegerezebwa olwo gireme tunyigiriza nyo ffe abavubuka era abantu ba wansi. Ssebo Pulezidenti, bingi ebigenda mu maaso mu ggwanga lyaffe. Kano si ke kaseera okwewolereza oba owekambuza. Kaseera odde ku mmeeza, ozze buggya entegeka zewalina okutwala eggwanga lino mu maaso. Ebibi mu ggwanga bisusse, kitususseeko, kituluma era kitumenya. Twetaaga obiyingiremu, obitereeze. Si nga pulezidenti, wabula nga omutuuze era munnansi w’eggwanga lino, ayagala okuleka nga ddungi n’okusinga bweyalisanga.
Nsigadde ndi omuvubuka omwennyamivu.
Comments